Kulembela Ngobelele
Oli Wamanyi
Otiisa abamaanyi
Ekitangaala kyo kya'maanyi
Kilaba ne kumwoyo munda
Wagulu ne wansi w'omutima,ne munda mu byenda
Nkuuma buli lunnaku Ku calendar
Ekisa kyo ky'amaanyi, kigonza n'abasiinga okukola entiisa
Wooli,embeela enzito eggonda
Elinnya lyo lya kyitiibwa n'ettendo
Omukwano gwo gwa muwendo
Kulembela ngobelele
Ndi mu lugendo gw'avuga
Ayi taata,gw'afuga
Nnungamya,sindika ba malaika bo bannyanukule
Nyongela amaanyi,
Yongela okundaga ekisa
Biingi by'ompisizaamu ela nkwebaza
Yongela okumulisiza
Nyongela okukwebaza okunkuuma nga nzisa
Eko kye kisa
Kulembela Ngobelele.
©Emanzi Ian 2019