Submit your work, meet writers and drop the ads. Become a member
Emanzi Ian Feb 2022
N'olwazi lumala ne lwatika
Naawe eyali yansuubiza obutaligenda,wamala nondeka
Nondeka nga ndaaga nga ndi nzekka
Bwebatyo omukwano gwaffe omungi gwetwalina neguyiika
Naye kiki ekyagaana?
Kuba omukwano gwaffe gwali mungi ng'ettaka
Kino sakisuubila nti gulidda wansi negukka
Naye kati omutima wamenya noleka awo
Omukwano gwaffe wasuula busuuzi awo nga bisasilo ku kasasilo
Byonna byetwayitamu,ng'ekisiimula wasiimula
Kati bwenkuba essimu,oba ng'atagiwulira
Bwoyamba nogikwata ebigambo byoyogela bindetela okwejjusa
Naye eky'okukwagala sikyejjusa
Olwazi Nalwo lumala ne lwatika.
Emanzi Ian May 2022
Byamwenya binyumila,antambulira kimbejja
Akawato ka nnumba,ensiingo ya biseela,
Amaaso agatunuza ng'agasasila
Njagala mutwale eyo ewala
Tubeele babili naye eyo ewala
Nga tuli just nze naye
Taliiyo asobola okunfananila ye
Kuba byakola bibye yekka
Infact,mweyagaliza nzekka
Owange,tugenda eyo mu nsozi,oba mu biziinga?!!
Honey jjukila nti gw'abasiinga
Njagala onsuubizenga nti toli ndekka
Tolindeka kubaleka baseke
Tobaleka kuseka ng'ondese
Nkwagala nnyo ekyo kyo nja kukyikujjukizanga
Byonkolera ebisiinga binkyamulanga
Ela ku lwekyo,kankube n'omulanga
Abeeyo...!!
Ono omwana bamutwala dda!!
Ela,abaali bagezaako okumukwana,mujjeyo essuubi
Ssi mu bubi
Ono omwana bamuwangula dda
Emabega talidda
Mubeele eyo,eno yemujja

BYAMWENYA BINYUMILA(11/1/2019)
Discovered from the archives.

— The End —