Submit your work, meet writers and drop the ads. Become a member
Emanzi Ian  Feb 2022
Olwazi
Emanzi Ian Feb 2022
N'olwazi lumala ne lwatika
Naawe eyali yansuubiza obutaligenda,wamala nondeka
Nondeka nga ndaaga nga ndi nzekka
Bwebatyo omukwano gwaffe omungi gwetwalina neguyiika
Naye kiki ekyagaana?
Kuba omukwano gwaffe gwali mungi ng'ettaka
Kino sakisuubila nti gulidda wansi negukka
Naye kati omutima wamenya noleka awo
Omukwano gwaffe wasuula busuuzi awo nga bisasilo ku kasasilo
Byonna byetwayitamu,ng'ekisiimula wasiimula
Kati bwenkuba essimu,oba ng'atagiwulira
Bwoyamba nogikwata ebigambo byoyogela bindetela okwejjusa
Naye eky'okukwagala sikyejjusa
Olwazi Nalwo lumala ne lwatika.

— The End —