Submit your work, meet writers and drop the ads. Become a member
Emanzi Ian Feb 2022
Omukwano gwaffe muto ng'ekimuli ekya'kamulisa
Nyumilwa nnyo engeli gye weyisa
Njagala nnyo bwompisa
Fukilila nga nange bwe nfukilila
Fukilila omukwano gwaffe gwongele okumulisa
Nkubilako bwe ndwawo okukuba,
Oba wakili sindikayo ka-message
Anti okwo keep kufukilila ekimulu kyaffe ekito
Kinzikakanya ng'onyumiza ku lunnaku lwo bwe lubadde,eyo mu kilo
Awo mba nja kukakkanya bulungi omutwe ku pillow
Omukwano gwange for you guli mu kilo
Sagala nnaku kuyita nga tetuwuliziganya,tokiganya kubaawo
Mba nja kuba ng'omutima teguli mu nteeko
Nga ssi muteefu
Kindetera okulowooza nnyo kubakwesunze
Bangi bakwesuunga,
Bakwesuunze,
Bangi bekyayisa obubi nga twefunye
Tebatwagaliza kusigala ffena
Ky'ovolaba nga nsaba oyongele okufukilila
Fukilila ekimulu kyaffe ekito kyongele okumulisa
Bali,emitima gyabwe gyajjula obukyaayi
Bo tusaana kubabeela Wala,
Ela tubeewale
Mulungi wange,jjangu twongele okufukilila

Fukilila ekimulu kyaffe ekito tukiwonye okukala
Bwe wewala abatatwagaliza,oba ofukilila
Bwe wewala abagala okulaba nga nze naawe twettade,obeela ela ofukilila
Bwe tuba ffembi ng'ondaga ku kamwenyu ko,obeer'ela ofukilila
Nkusuubiza nti mu mbeela yonna,neetegese okukuwanilira
Nja kukulwanila,
Nja kukulwanila
Kinnyongela essuubi okumanya nti oli wange,gwe omwana w'abalungi
Nti ela wasiima nze mu Bangi
Nnyongela okukusuubiza nti nja kufukilila omukwano mu bungi
Nkukakasa sijja kwekyusa mu langi

(20/11/2021)
Fukilila omukwano gwaffe gukule.
Emanzi Ian May 2022
Byamwenya binyumila,antambulira kimbejja
Akawato ka nnumba,ensiingo ya biseela,
Amaaso agatunuza ng'agasasila
Njagala mutwale eyo ewala
Tubeele babili naye eyo ewala
Nga tuli just nze naye
Taliiyo asobola okunfananila ye
Kuba byakola bibye yekka
Infact,mweyagaliza nzekka
Owange,tugenda eyo mu nsozi,oba mu biziinga?!!
Honey jjukila nti gw'abasiinga
Njagala onsuubizenga nti toli ndekka
Tolindeka kubaleka baseke
Tobaleka kuseka ng'ondese
Nkwagala nnyo ekyo kyo nja kukyikujjukizanga
Byonkolera ebisiinga binkyamulanga
Ela ku lwekyo,kankube n'omulanga
Abeeyo...!!
Ono omwana bamutwala dda!!
Ela,abaali bagezaako okumukwana,mujjeyo essuubi
Ssi mu bubi
Ono omwana bamuwangula dda
Emabega talidda
Mubeele eyo,eno yemujja

BYAMWENYA BINYUMILA(11/1/2019)
Discovered from the archives.

— The End —