HelloPoetry
Classics
Words
Blog
F.A.Q.
About
Contact
Guidelines
© 2024 HePo
by
Eliot
Submit your work, meet writers and drop the ads.
Become a member
Emanzi Ian
Poems
Feb 2022
Nkwatako
Nkwatako n'obwo obugalo obuwewela ng'obuviiri bw'omuwele
Nkwatako mpewele
Engeli gyo nkwatamu empeweza ne'mba ng'omuwele
Buli lwonkwatako mpulira nga nzikakanye
Mpulira ng'omuliro ogubadde gubumbuggya munze gukakanye
Bwombela okumpi,kyinzikakanya ebilowoozo,nzenna omutima neguba muteefu
Bambi jjangu gyendi,vaayo eyo ewala ggyooli
Jjangu ombeele kumpi omponye ekiwubaalo
Okubeela wo kwo,okumpi nange kyimpa essanyu elya namaddala
Kunze,eddoboozi lyo ddagala
Ye ggwe omu bwati gwe njagala
Ye gwe gwe njoya
Bambi jjangu onkwateko omponye okufa
Bwemba naawe,mba siyoya
Bwombela ewala,mba nkuyoya ng'akasana ko kumukya
Mba nkutaawa ng'olubuto kumakya bwe lutaawa ekyenkya
Sisobola kuliinda lwa nkya,olwaleero lee netaaga
Naye bwe lunaaba lwa nkya,nja kusula nga nkwesuunga nga mbaga
Nja kuguma,nja kuliinda kuba gwe wange,
Tosobola kunjiwa!
Obulungi bwo kitone
Omutonzi yabukuweesa mutima gumu
Empisa zo zzaabu,oli ttabbu
Oli wanjawulo ela omutonzi ya kwawula mu banno
Nesiimye mu bonna abangi omukisa waguwa nze
Nesiimye oli wange,ela nkukakasa nange ndi wuwo wekka
Bali abalina ensimbi be zzaabu wabaleka n'osiima nze
Nkusuubiza tojja kwejjusa
Sili kuletera kwejjusa
Nze Ani,
Nze Ani eyalondebwa malayika
Nesiimye omutonzi yakunsiindikira ompe emirembe
Leero lwatuuse netuba ffembi neera,Bambi nkwatako nfune otulo
(4/11/2021)
Nkwatako nfune otulo
#nkwatako
Written by
Emanzi Ian
27/M/Kampala Uganda
(27/M/Kampala Uganda)
Follow
😀
😂
😍
😊
😌
🤯
🤓
💪
🤔
😕
😨
🤤
🙁
😢
😭
🤬
0
234
Please
log in
to view and add comments on poems