Hello Poetry
Submit your work and get some sparkles! Create free account
"nnyo" poems
Omulungi wange sembera Sembera wanno Wendi tubalumye Sembera onkwateko,twekwateko Nga tuli ffembi,nnyumilwa nnyo Mu bulamu bwange oli kirungo,nga emmele n'omunnyo Nze mmele,gwe mmunnyo Nga ka-sukaali ne chai Bali baleke,emitima ggyabwe jjajula obukyaayi Tebakunjagaliza,bagala kukukwabula Baleke bamale ebiseela Nga ffe eno twennyumilwa. ©Emanzi Ian 2019.
0
Dec 10, 2019
Dec 10, 2019 at 11:12 AM UTC
Omulungi Wange
Omukwano gwaffe muto ng'ekimuli ekya'kamulisa Nyumilwa nnyo engeli gye weyisa Njagala nnyo bwompisa Fukilila nga nange bwe nfukilila Fukilila omukwano gwaffe gwongele okumulisa Nkubilako bwe ndwawo okukuba, Oba wakili sindikayo ka-message Anti okwo keep kufukilila ekimulu kyaffe ekito Kinzikakanya ng'onyumiza ku lunnaku lwo bwe lubadde,eyo mu kilo Awo mba nja kukakkanya bulungi omutwe ku pillow Omukwano gwange for you guli mu kilo Sagala nnaku kuyita nga tetuwuliziganya,tokiganya kubaawo Mba nja kuba ng'omutima teguli mu nteeko Nga ssi muteefu Kindetera okulowooza nnyo kubakwesunze Bangi bakwesuunga, Bakwesuunze, Bangi bekyayisa obubi nga twefunye Tebatwagaliza kusigala ffena Ky'ovolaba nga nsaba oyongele okufukilila Fukilila ekimulu kyaffe ekito kyongele okumulisa Bali,emitima gyabwe gyajjula obukyaayi Bo tusaana kubabeela Wala, Ela tubeewale Mulungi wange,jjangu twongele okufukilila Fukilila ekimulu kyaffe ekito tukiwonye okukala Bwe wewala abatatwagaliza,oba ofukilila Bwe wewala abagala okulaba nga nze naawe twettade,obeela ela ofukilila Bwe tuba ffembi ng'ondaga ku kamwenyu ko,obeer'ela ofukilila Nkusuubiza nti mu mbeela yonna,neetegese okukuwanilira Nja kukulwanila, Nja kukulwanila Kinnyongela essuubi okumanya nti oli wange,gwe omwana w'abalungi Nti ela wasiima nze mu Bangi Nnyongela okukusuubiza nti nja kufukilila omukwano mu bungi Nkukakasa sijja kwekyusa mu langi (20/11/2021)
0
Feb 10, 2022
Feb 10, 2022 at 3:35 PM UTC
Fukilila
Byamwenya binyumila,antambulira kimbejja Akawato ka nnumba,ensiingo ya biseela, Amaaso agatunuza ng'agasasila Njagala mutwale eyo ewala Tubeele babili naye eyo ewala Nga tuli just nze naye Taliiyo asobola okunfananila ye Kuba byakola bibye yekka Infact,mweyagaliza nzekka Owange,tugenda eyo mu nsozi,oba mu biziinga?!! Honey jjukila nti gw'abasiinga Njagala onsuubizenga nti toli ndekka Tolindeka kubaleka baseke Tobaleka kuseka ng'ondese Nkwagala nnyo ekyo kyo nja kukyikujjukizanga Byonkolera ebisiinga binkyamulanga Ela ku lwekyo,kankube n'omulanga Abeeyo...!! Ono omwana bamutwala dda!! Ela,abaali bagezaako okumukwana,mujjeyo essuubi Ssi mu bubi Ono omwana bamuwangula dda Emabega talidda Mubeele eyo,eno yemujja BYAMWENYA BINYUMILA(11/1/2019)
0
May 24, 2022
May 24, 2022 at 5:59 PM UTC
Byamwenya