Hello Poetry
Submit your work and get some sparkles! Create free account
"ngobelele" poems
Kulembela Ngobelele Oli Wamanyi Otiisa abamaanyi Ekitangaala kyo kya'maanyi Kilaba ne kumwoyo munda Wagulu ne wansi w'omutima,ne munda mu byenda Nkuuma buli lunnaku Ku calendar Ekisa kyo ky'amaanyi, kigonza n'abasiinga okukola entiisa Wooli,embeela enzito eggonda Elinnya lyo lya kyitiibwa n'ettendo Omukwano gwo gwa muwendo Kulembela ngobelele Ndi mu lugendo gw'avuga Ayi taata,gw'afuga Nnungamya,sindika ba malaika bo bannyanukule Nyongela amaanyi, Yongela okundaga ekisa Biingi by'ompisizaamu ela nkwebaza Yongela okumulisiza Nyongela okukwebaza okunkuuma nga nzisa Eko kye kisa Kulembela Ngobelele. ©Emanzi Ian 2019
0
Dec 10, 2019
Dec 10, 2019 at 11:11 AM UTC
Kulembelela Ngobelele