Hello Poetry
Submit your work and get some sparkles! Create free account
"gwaffe" poems
N'olwazi lumala ne lwatika Naawe eyali yansuubiza obutaligenda,wamala nondeka Nondeka nga ndaaga nga ndi nzekka Bwebatyo omukwano gwaffe omungi gwetwalina neguyiika Naye kiki ekyagaana? Kuba omukwano gwaffe gwali mungi ng'ettaka Kino sakisuubila nti gulidda wansi negukka Naye kati omutima wamenya noleka awo Omukwano gwaffe wasuula busuuzi awo nga bisasilo ku kasasilo Byonna byetwayitamu,ng'ekisiimula wasiimula Kati bwenkuba essimu,oba ng'atagiwulira Bwoyamba nogikwata ebigambo byoyogela bindetela okwejjusa Naye eky'okukwagala sikyejjusa
0
Feb 10, 2022
Feb 10, 2022 at 2:33 PM UTC
Olwazi
Omukwano gwaffe muto ng'ekimuli ekya'kamulisa Nyumilwa nnyo engeli gye weyisa Njagala nnyo bwompisa Fukilila nga nange bwe nfukilila Fukilila omukwano gwaffe gwongele okumulisa Nkubilako bwe ndwawo okukuba, Oba wakili sindikayo ka-message Anti okwo keep kufukilila ekimulu kyaffe ekito Kinzikakanya ng'onyumiza ku lunnaku lwo bwe lubadde,eyo mu kilo Awo mba nja kukakkanya bulungi omutwe ku pillow Omukwano gwange for you guli mu kilo Sagala nnaku kuyita nga tetuwuliziganya,tokiganya kubaawo Mba nja kuba ng'omutima teguli mu nteeko Nga ssi muteefu Kindetera okulowooza nnyo kubakwesunze Bangi bakwesuunga, Bakwesuunze, Bangi bekyayisa obubi nga twefunye Tebatwagaliza kusigala ffena Ky'ovolaba nga nsaba oyongele okufukilila Fukilila ekimulu kyaffe ekito kyongele okumulisa Bali,emitima gyabwe gyajjula obukyaayi Bo tusaana kubabeela Wala, Ela tubeewale Mulungi wange,jjangu twongele okufukilila Fukilila ekimulu kyaffe ekito tukiwonye okukala Bwe wewala abatatwagaliza,oba ofukilila Bwe wewala abagala okulaba nga nze naawe twettade,obeela ela ofukilila Bwe tuba ffembi ng'ondaga ku kamwenyu ko,obeer'ela ofukilila Nkusuubiza nti mu mbeela yonna,neetegese okukuwanilira Nja kukulwanila, Nja kukulwanila Kinnyongela essuubi okumanya nti oli wange,gwe omwana w'abalungi Nti ela wasiima nze mu Bangi Nnyongela okukusuubiza nti nja kufukilila omukwano mu bungi Nkukakasa sijja kwekyusa mu langi (20/11/2021)
0
Feb 10, 2022
Feb 10, 2022 at 3:35 PM UTC
Fukilila