Hello Poetry
Submit your work and get some sparkles! Create free account
"bwe" poems
Nkwatako n'obwo obugalo obuwewela ng'obuviiri bw'omuwele Nkwatako mpewele Engeli gyo nkwatamu empeweza ne'mba ng'omuwele Buli lwonkwatako mpulira nga nzikakanye Mpulira ng'omuliro ogubadde gubumbuggya munze gukakanye Bwombela okumpi,kyinzikakanya ebilowoozo,nzenna omutima neguba muteefu Bambi jjangu gyendi,vaayo eyo ewala ggyooli Jjangu ombeele kumpi omponye ekiwubaalo Okubeela wo kwo,okumpi nange kyimpa essanyu elya namaddala Kunze,eddoboozi lyo ddagala Ye ggwe omu bwati gwe njagala Ye gwe gwe njoya Bambi jjangu onkwateko omponye okufa Bwemba naawe,mba siyoya Bwombela ewala,mba nkuyoya ng'akasana ko kumukya Mba nkutaawa ng'olubuto kumakya bwe lutaawa ekyenkya Sisobola kuliinda lwa nkya,olwaleero lee netaaga Naye bwe lunaaba lwa nkya,nja kusula nga nkwesuunga nga mbaga Nja kuguma,nja kuliinda kuba gwe wange, Tosobola kunjiwa! Obulungi bwo kitone Omutonzi yabukuweesa mutima gumu Empisa zo zzaabu,oli ttabbu Oli wanjawulo ela omutonzi ya kwawula mu banno Nesiimye mu bonna abangi omukisa waguwa nze Nesiimye oli wange,ela nkukakasa nange ndi wuwo wekka Bali abalina ensimbi be zzaabu wabaleka n'osiima nze Nkusuubiza tojja kwejjusa Sili kuletera kwejjusa Nze Ani, Nze Ani eyalondebwa malayika Nesiimye omutonzi yakunsiindikira ompe emirembe Leero lwatuuse netuba ffembi neera,Bambi nkwatako nfune otulo (4/11/2021)
0
Feb 10, 2022
Feb 10, 2022 at 3:07 PM UTC
Nkwatako
Omukwano gwaffe muto ng'ekimuli ekya'kamulisa Nyumilwa nnyo engeli gye weyisa Njagala nnyo bwompisa Fukilila nga nange bwe nfukilila Fukilila omukwano gwaffe gwongele okumulisa Nkubilako bwe ndwawo okukuba, Oba wakili sindikayo ka-message Anti okwo keep kufukilila ekimulu kyaffe ekito Kinzikakanya ng'onyumiza ku lunnaku lwo bwe lubadde,eyo mu kilo Awo mba nja kukakkanya bulungi omutwe ku pillow Omukwano gwange for you guli mu kilo Sagala nnaku kuyita nga tetuwuliziganya,tokiganya kubaawo Mba nja kuba ng'omutima teguli mu nteeko Nga ssi muteefu Kindetera okulowooza nnyo kubakwesunze Bangi bakwesuunga, Bakwesuunze, Bangi bekyayisa obubi nga twefunye Tebatwagaliza kusigala ffena Ky'ovolaba nga nsaba oyongele okufukilila Fukilila ekimulu kyaffe ekito kyongele okumulisa Bali,emitima gyabwe gyajjula obukyaayi Bo tusaana kubabeela Wala, Ela tubeewale Mulungi wange,jjangu twongele okufukilila Fukilila ekimulu kyaffe ekito tukiwonye okukala Bwe wewala abatatwagaliza,oba ofukilila Bwe wewala abagala okulaba nga nze naawe twettade,obeela ela ofukilila Bwe tuba ffembi ng'ondaga ku kamwenyu ko,obeer'ela ofukilila Nkusuubiza nti mu mbeela yonna,neetegese okukuwanilira Nja kukulwanila, Nja kukulwanila Kinnyongela essuubi okumanya nti oli wange,gwe omwana w'abalungi Nti ela wasiima nze mu Bangi Nnyongela okukusuubiza nti nja kufukilila omukwano mu bungi Nkukakasa sijja kwekyusa mu langi (20/11/2021)
0
Feb 10, 2022
Feb 10, 2022 at 3:35 PM UTC
Fukilila